Psalms 24

Zabbuli ya Dawudi.

1 aEnsi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.

3 bAlyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4 cOyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.

5Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6 dOgwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.

7 eMweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8 fKabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
Copyright information for LugEEEE